Romans 11

1 aKale ka mbuuze: Katonda yeegoberako ddala abantu be? Kikafuuwe. Kubanga nange ndi Muyisirayiri, era muzzukulu wa Ibulayimu, ow’omu kika kya Benyamini. 2 bKatonda tasuulanga bantu be, be yalonda okuva ku lubereberye. Oba temumanyi ekyawandiikibwa ekyogera ku Eriya bwe yeegayirira Katonda nga yeemulugunya olwa Isirayiri? 3 cYagamba nti, “Mukama, basse bannabbi bo ne bamenyaamenya n’ebyoto byo. Nze nzekka nze nsigaddewo, ate bannoonya okunzita.” 4 dNaye Katonda yamuddamu atya? Yamugamba nti: “Neesigalizzaawo abasajja kasanvu abatafukaamirira Baali.” 5 eEra bwe kityo ne mu biro bino waliwo ekitundu ekyasigalawo abaalondebwamu olw’ekisa. 6 fNaye obanga lwa kisa, si lwa bikolwa nate, kubanga ekisa kyandibadde tekikyali kisa.

7 gKale tugambe ki? Abayisirayiri baalemwa okufuna kye baali banoonya, wabula be yalondamu be baakifuna, abalala ne bakakanyazibwa, emitima, 8 hnga bwe kyawandiikibwa nti,

“Katonda yabawa omwoyo ogw’okubongoota,
n’aleetera amaaso gaabwe obutalaba,
n’amatu gaabwe obutawulira
okutuusa leero.”
9Ne Dawudi yagamba nti,

“Leka ekijjulo kyabwe kibafuukire omutego, era ekitimba,
eky’okubatega era empeera ebasaanira.
10 iAmaaso gaabwe ka gabeeko ekifu, baleme okulaba.
Era batambule nga bakootakoota emirembe n’emirembe.”
11 jKale ka mbuuze, kyebaava beesittala balyoke bagwe? Kikafuuwe. Naye olw’okwonoona kwabwe, obulokozi kyebwava bujja eri Abaamawanga, Abayudaaya balyoke bakwatibwe obuggya. 12 kKale obanga okwonoona kwabwe kutegeeza bugagga eri ensi, n’okulemwa kwabwe nga kutegeeza bugagga eri Abaamawanga, okuganyulwa kwabwe tekulisingawo!

13 lKaakano njogera gye muli Abaamawanga, nga bwe ndi omutume eri Abaamawanga, ngulumiza obuweereza bwange, 14 msinga kisoboka nkwase baganda bange obuggya abamu ku bo basobole okulokolebwa. 15 nKubanga obanga okugobebwa kwabwe kwe kutabaganya ensi, okusembezebwa kwabwe kulitegeeza ki, bwe kutaliwa bafu bulamu? 16 oKale kaakano obanga ekitole ky’eŋŋano ekandiddwa ne kiweebwayo ng’ekibala ekibereberye kitukuvu, n’eŋŋaano yonna ntukuvu; era obanga ekikolo kitukuvu, n’amatabi matukuvu.

17 pNaye obanga amatabi agamu gaawogolebwa, ate nga ggwe eyali omuzeyituuni ogw’omu nsiko wasimbibwa ku kikolo kyagwo, n’ogabana ku bugimu bw’ekikolo ky’omuzeyituuni, 18 qteweenyumiririzanga ku matabi ago; naye bwe weenyumirizanga, jjukira nga si gwe owaniridde ekikolo, naye ekikolo kye kikuwaniridde. 19Oyinza okwogera nti, “Amatabi gaawogolwako, ndyoke nsimbibweko.” 20 rKy’oyogedde kiba kituufu. Weewaawo gaawogolwako lwa butakkiriza, kyokka ggwe onywedde lwa kukkiriza. Teweenyumirizanga, naye otyanga. 21Kuba obanga Katonda teyasaasira matabi ga buzaaliranwa, nammwe ayinza obutabasaasira.

22 sKale mufumiitirize ku kisa n’obukambwe bwa Katonda. Aba mukambwe eri abo abaagwa, naye n’aba wa kisa eri ggwe, bwe weeyongera okunywerera mu kisa kye, kubanga naawe bw’otonywere oliwogolwako. 23 tEra n’abo oluvannyuma bwe balikkiriza, balizzibwako ku nduli kubanga Katonda ayinza okubazaako kuli. 24Kuba obanga ggwe mu buzaaliranwa bwo gwe eyawogolwa ku muzeyituuni, wazzibwa ku muzeyituuni ogutali gwa buzaaliranwa bo, abo ab’obuzaaliranwa tebalisinga nnyo okuzzibwa ku muzeyituuni gwabwe bo?

25 uKubanga ssaagala mmwe abooluganda obutamanya kyama kino nga mwelowooza okuba ab’amagezi, ng’abamu ku Bayisirayiri bwe baakakanyaza emitima gyabwe, okutuusa mmwe Abaamawanga, lwe muliyingira. 26N’oluvannyuma Isirayiri yenna alirokolebwa, ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti,

“Omulokozi aliva mu Sayuuni,
era aliggyawo obutatya Katonda mu bazzukulu ba Yakobo.
27 vEra eyo ye ndagaano yange nabo,
bwe ndibaggyako ebibi byabwe.”
28 wMu njiri balabe ku lwammwe, naye mu kulondebwa baagalwa olwa bajjajjaabwe. 29 xKubanga Katonda bw’agabira abantu ebirabo oba bw’abayita, teyejjusa. 30 yKuba nga mmwe edda bwe mwajeemera Katonda, kyokka kaakano nga musaasiddwa olw’obujeemu bw’Abayudaaya, 31bwe batyo nabo kaakano bajeemu, eri ekyo ekyali okusaasira gye muli, balyoke basaasirwe. 32 zKubanga Katonda yaleka abantu bonna mu bujeemu alyoke abakwatirwe ekisa.

33 aaKale nga Katonda wa kitalo,
ng’amagezi ge mangi n’okutegeera kwe kungi era n’obugagga bungi;
ensala ye ey’emisango nga tekeberekeka, n’amakubo ge tegekkaanyizika.
34 ab“Kubanga ani ayinza okutegeera okulowooza kwa Mukama?
Oba ani ayinza okumuluŋŋamya?”
35 ac“Oba ani eyali asoose okumuwa ekintu,
alyoke amuddizeewo?”
36 adKubanga byonna biva gy’ali, era biyita mu ye era bidda gy’ali.
Ekitiibwa kibe gy’ali emirembe gyonna. Amiina.
Copyright information for LugEEEE